Omwogezi wa
Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nasambajja ebyafulumiziddwa olupapula lwa New Vision nga lutegeeza nti IGP John Martin Okoth Ochola mulwadde muyi era yabuusiddwa okuva mu Ggwanga natwalibwa okufuna obujanjabi ebweru w’Eggwanga nga yaweerekeddwako Police Surgeon n’omuyambi we.
Enanga agamba nti eggulire situufu era liwabya Bannayuganda, ayongeddeko nti IGP yagenzeeko ku Ddwaliro lya Argawal ku Lumumba Avenue okukeberebwa amaaso era nasabibwa okuwummulamu emirimu ngali waka okumala enaku 7. Enanga agamba nti IGP amwetaaga asobola okumukubira essimu oba okumutuukirira.
Ayongedde nti avunaanyizibwa ku by’amateeka mu Poliisi Director Legal and Human Rights Services, ensonga yagitunuddemu dda nti era wakuggulawo omusango ku New Vision olwokufulumya amawulire amakyamu ku IGP.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.