Poliisi ekutte Wabwire

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omusirikale waabwe No.67029 PC Wabwire Ivan 30 eyakuba Munnansi wa Buyindi amasasi agamuttirawo ku Raja Chambers ku Parliamentary Avenue, UTTAM BHANDARI Director wa TFS Financial Services nga bamukukunudde mu Disitulikiti y’e Busia.
Flying Squad Unit ngeri wamu ne Poliisi y’omu kitundu ku ssaawa emu eyookumakya nga 14 May 23 bakutte Wabwire Busia Municipality ku Customs nga ekikwekweto kyakulembeddwa DPC wa Busia SP Didas Byaruhanga. Wabwire akuumirwa ku CPS e Busia nga bwebateekateeka okumuleeta ku CPS e Kampala.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply