Poliisi ekutte abantu 3 abagambibwa okutta Dr. Abiriga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekikola ku kunoonyereza nga kikolera wamu ne Poliisi mu bitundu bya Elgon, Sipi, Albertine wamu ne Masindi kwogatta ne Flying Squad bwebakutte omuntu owookubiri ngono asuubirwa okuba omu ku basasulwa mukyala womugenzi Cherotic Betty okutta bba eyali akulira ebyobulamu mu Disitulikiti ye Masindi Dr. Abiriga Jino nga 7-January-2024 n’oluvannyuma omulambo ggwe nebagusuula mita 50 okuva awaka we.
Eyakwatiddwa ye Namureng Joshna, 36, nga muzimbi ku kyalo Tarobya, mu Gombolola y’e Amanang mu Disitulikiti y’e Bukwo. Abakakwatibwa kati baweze 3 okuli; mukyala w’omugenzi Cherotic Betty, 31, ne Kipsang Martin aka Chesebe, 34, nga mubazzi ku kyalo Roruk, mu Gombolola ye Amanang mu Disitulikiti y’e Bukwo.
Ebyakazuulwawo brag nti abagalana bano balai babeera bombi ng’omukyala n’omwami okuva 2019 era nga balina omwana omuwere wa myezi 9, ngono bamufuna oluvannyuma lwa mutabani waabwe omukulu okuva saako n’olubuto lw’abalongo okuvaamu. Kigambibwa nti Cherotic Betty yateekateeka okutemula bba oluvannyuma lwokukimanyaako nti yali afunye omukyala omulala Atuhura Suzan ngabeera Masindi. Ono yategeka okutta Atuhura, era bakuma omuliro ku nnyumba ye wabula abokumuliraano nebaguzikiza.
Nga 11-12-2023, Betty yapangisa Kipsang Martin ku bukadde 2 n’ekitundu amuyambe atte muna we era nga 18.12.2023, Kipsang yalinnya nagenda e Masindi oluvannyuma lwokusasulwako emitwalo 50 okugenda okutta Atuhura Suzan wabula enteekateeka zaagwa butaka oluvannyuma lwa Suzan obutalabikako mu kino webaali bamusuubira nga wano webalina okumuttira.
Bweyalemererwa emirundi 2 okutta mujjawe, yasalawo olukwe aluzze kukutta bba gwagamba nti yeyaviirako okufa kw’omwana waabwe wamu n’okuvaamu olubuto lw’abalongo nti era yalinga amulangira nga bwatanyumisa kaboozi kakikulu. Bwatyo yalagira Kipsang okufunayo omuntu omulala amuyambeko okutta bba era nga 26.12.2023, Kipsang ne Namureng Joshua, agenda okumaliriza omulimu wabula kwolwo balemererwa oluvannyuma lwa Dr. Abiriga okuzuukuka bweyawulira enswagiro naggalawo oluggi olwali lulekeddwa mukyala we nga luggule.
Abatemu baddayo e Bukwo, wabula ne bakomawo nga 6.01.2024, oluvannyuma lwa Chesang, okubassa ku nninga bamalirize omulimu. Bano batuuka e Masindi mu ttuntu era nebafuna ekisenge mu Valentine Guest House, yabatemyako nabayita okujja mu nnyumba oluvannyuma lwa bbaawe okwebaka. Bano bombi baali babagalidde emiyini wamu n’akambe. Betty yabaggulirawo ggeeti nabatwala mu kisenge omwami gyeyali yebase. Bamukuba omuyini ku mutwe, nebamusika nebamusuula wansi webamusalira omumiro nafiirawo. Bonna 3 balongoosa bulungi omulambo nebagwambaza T-shirt emyuufu n’empale ya bbululu, nebagusitulira ku ddala olwo nebagusuula mita 50 okuva mu maka ge.
Bano baddayo ku Valentine Guest House, nebasuula engoye ezaali zibunye omusaayi mu kabuyonjo nebalinnya okuva mu Masindi Municipality ku ssaawa kumi neemu n’ekitundu ezookumakya. Kipsang ne Namureng balondoolwa nebabakwatira e Bukwo oluvannyuma nebatwalibwa e Masindi era bonna 3 nebakiriza okwenyigira mu kutta Dr. Abiriga, ebizibiti ebiwerako byazuuliddwa okuli emiyini 2 okuva mu Bulyasojo cell, engatto zomugenzi, black sports bag, engoye zabattemu, ensawo eyagiddwa mu kabuyonjo wamu ne pillow cover, ekisimuula, ID y’omulimu eyomugenzi, n’engoye eziriko omusaayi.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Ntuse Kusimba 97.3🔥🔥🔥🔥Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakazi Abambala #Mini Eyo
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Ntuse Kusimba 97.3🔥🔥🔥🔥Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakazi Abambala #Mini Eyo
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among awadde ebiragiro ebiggya ku Babaka abebulankanya mu ntuula za Palamenti. Ono agamba nti balonda Ababaka abasoba mu 500 okukiikirira abantu naye abalabikako mu ntuula za Palamenti balubatu neyewuunya gyebabeera.

Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among awadde ebiragiro ebiggya ku Babaka abebulankanya mu ntuula za Palamenti. Ono agamba nti balonda Ababaka abasoba mu 500 okukiikirira abantu naye abalabikako mu ntuula za Palamenti balubatu neyewuunya gyebabeera. ...

24 0 instagram icon
Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok.
Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse.
Bya Kamali James

Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok.
Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse.
Bya Kamali James
...

15 0 instagram icon
Omumyuuka w'omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa.

Omumyuuka w`omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa. ...

89 9 instagram icon
Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon