Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 240 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Bakifeesi bonoonye ebintu byabasuubuzi mu Katale ka Kabaka e Bwaise

May 12, 2024 · Mubiru Ali
Abantu abagambibwa okubeera ba kifeesi balumbye akatale ka Kabaka ak’e Bwaise mu kiro ekikeesezza olwaleero nebakoonakona emidaala saako nokwonoona emmaali y’abasuubuzi.
Okusinziira ku basuubuzi abasula mu Katale Kano bategeezezza nti abazigu babalumbye ku ssaawa 7 ogw’ekiro nga babagalidde ebijambiya n’enyondo nebatandika okukoona ssaako nokumenya emidaala gyabasuubuzi.
Okusinziira ku Vicent Ssenono Omuwandiisi ku kakiiko akakulembera abasuubuzi mu Katale kano ategeezezza nga bweyabadde yebase nawulira abamenya ggeeti era olwayingidde nebamukwata nebamuggyako n’ensimbi zeyabadde nazo.
Abasuubuzi balumirizza Ssentebe w’akatale kano Abdallah Mwanje Muteesasira okubeera emabega w’obulumbaganyi buno.
Ebintu ebimu ku byayononeedwa kwabaddeko ebibala, emiddaala gy’enkoko obuyumba bw’enkoko ssaako nokukuulita nebimu ku bintu byabasuubuzi abasoba mu 100.
Zam Nabiddo owemyaka 70 nga musuubuzi mu Katale kano ategeezezza nga bwebamenye omudaala gwe nebatwala n’amenvu nga ono ayagala bamuliyirire okusinziira kubbanga lyamaze mu Katale Kano.
Abasuubuzi berayiridde obutaamuka Katale kano okuggyako nga bamaze okubaliyiririra n’okubalaga awokudda nebasaba abobuyinza okuvaayo okubayamba.
Bano era bemulugunyiza ku Uganda Police Force ye Kawempe gyebagamba nti tebayambye nga buli bwebagenda okwekubira enduulu tebayambibwa.
Mwanje ku lukomo lwe’ssimu ategeezezza nga bwatamanyi kumbeera eno nga kirabika abasuubuzi bennyini bebekozeeko effujjo nebemenyera ebintu byaabwe era nti bandibaanga bagala kusaasirwa.