Poliisi egamba nti obuzzi bw’emisango bweyongedde

Poliisi egamba nti obuzzi bw’emisango mu Uganda bweyongedde ebitundu 3 ku 100 mu alipoota y’omwaka 2017 ekwata ku buzzi bw’emisango eyafulumiziddwa Poliisi.

Director wa CID Grace Akullo agamba nti obuzzi bw’emisango bweyongera okutuuka ku misango 252000 mu 2017 bwegigerageranya ku misango 243000 egy’omwaka 2016.

Era yagambye nti abamenyi b’amateeko 66000 bebatwalibwa mu kkooti ate 105000 bebanoonyerezebwako ate emisango 36000 gyegitanawulirwa kkooti.

Bwo obubenje bwakendeera ebitundu 8.6% kw’obwo obwaliwo mu 2016 okuva ku 14474 mu 2016 bwobugerageranya ku bubenje 13244 mu 2017. Ku bubenje obwo obubenje 3051 bwali bw’amaanyi nnyo, obubenje 6530 bwali bw’amaanyi n’obubenje 3663 tebwali bw’amaanyi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Poliisi ekutte abayizi 7 aba MUST e Mbarara