Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana guddamu nga 3-10-2022

Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates ne Ssewanyana Allan olwaleero bavuddeyo nebalaga okusiima kwabwe eri omuwaabi wa Gavumenti e Masaka Birivumbuka Richard olwokuvaayo nabagambira ku basirikale b’Amakomera abaali babakooza akagiri mu Kkomera e Kigo gyebali.
Bano basabye Kkooti ebakirize beyimirirwe kubanga abaana baabwe tebanaba kudda ku masomero olw’okuba nti ssente ziri mu bbanka ku akawunti zaabwe nga bebalina okuteekako emikono okuziggyayo.
Hon. Ssewanyana Allan yeebazizza Omusawo Mukwaya Ben eyamuyamba najanjaba omwana we kyokka naye era asabye Kkooti ekirize beyimirirwe baddeyo bakikirire abantu baabwe.
Ye omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard akakasiza Kkooti nti olutuula oluddako ajjakuba amalirizza okunonyereza era wakuleeta obujulizi ababaka basindikibwe mu Kkooti Enkulu. Omulamuzi Nantege Christine omusango agwongezaayo okutuusa nga 10/3/2022.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Nze ntuusewo πŸ”₯πŸ”₯πŸ”₯🀟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo πŸ˜‚πŸ˜‚πŸ˜‚ Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo πŸ”₯πŸ”₯πŸ”₯🀟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo πŸ˜‚πŸ˜‚πŸ˜‚ Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y'Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y`Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
...

24 4 instagram icon
Mukyala w'Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n'maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Mukyala w`Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n`maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.
...

3 0 instagram icon

55 1 instagram icon
Olunaku olwaleero mu Program Olutindo ne Peter Kibazo tulina Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Mukono Municipality Hon. Betty Nambooze Bakireke. Tomusubwa 7pm - 8pm

Olunaku olwaleero mu Program Olutindo ne Peter Kibazo tulina Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Mukono Municipality Hon. Betty Nambooze Bakireke. Tomusubwa 7pm - 8pm ...

3 0 instagram icon