Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 547 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana guddamu nga 3-10-2022

February 22, 2022 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates ne Ssewanyana Allan olwaleero bavuddeyo nebalaga okusiima kwabwe eri omuwaabi wa Gavumenti e Masaka Birivumbuka Richard olwokuvaayo nabagambira ku basirikale b’Amakomera abaali babakooza akagiri mu Kkomera e Kigo gyebali.
Bano basabye Kkooti ebakirize beyimirirwe kubanga abaana baabwe tebanaba kudda ku masomero olw’okuba nti ssente ziri mu bbanka ku akawunti zaabwe nga bebalina okuteekako emikono okuziggyayo.
Hon. Ssewanyana Allan yeebazizza Omusawo Mukwaya Ben eyamuyamba najanjaba omwana we kyokka naye era asabye Kkooti ekirize beyimirirwe baddeyo bakikirire abantu baabwe.
Ye omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard akakasiza Kkooti nti olutuula oluddako ajjakuba amalirizza okunonyereza era wakuleeta obujulizi ababaka basindikibwe mu Kkooti Enkulu. Omulamuzi Nantege Christine omusango agwongezaayo okutuusa nga 10/3/2022.