Nawangula obwa Pulezidenti mu 2016 – Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye

Eyakwatira ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC bendera ku kifo ky’obwa Pulezidenti mu kalulu ka 2016 Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo nategeeza nga bwakyalina obujulizi obulaga nti akalulu ka 2016 yawangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku bwa Pulezidenti.
Bino abyogeredde mu Kakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission nga kakubirizibwa Ssentebe waako, Mariam Wangadya, ku musango gweyawaaba mu 2016 ngalanga Uganda Police Force wamu n’eggye lya UPDF eyali eduumirwa AIGP Felix Kaweesi bwebamenya offiisi za FDC nebakwata Gen. Mugisha Muntu ne Ingrid Turinawe. Ono agamba nti yakwatibwa bubi nnyo era navunaanibwa wabula taweebwa nga mukisa kwewozaako yadde okumusingisa omusango kyagamba nti bamuyigganya lwabyabufuzi.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply