Munyagwa asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

Eyaliko Omubaka wa Kawempe South Mubarak Munyagwa asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga June 12, 2023 oluvannyuma lwokukwatibwa enkya yaleero ne banne 4 ku misango okuli; criminal trespass, malicious damage to property ne conspiracy to commit a felony.
Munyagwa ne banne bakwatiddwa abasirikale okuva mu Kakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda ababatutte mu Kkooti y’omulamuzi e Kajjansi Doreen Karungi.
Munyagwa akwatidde ne Paddy Kafeero, Joweria Nakafeero, Godfrey Buwembo, Isaac Ssekitooleko n’abalala abakyanoonyezebwa kigambibwa nga nti wakati wa 26-May ne June 3 bayonoona ennimiro ya muwogo ebalirirwamu obukadde 5, ebya Janan Opio.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply