Munnakibiina kya NRM eyalimba emyaka agiddwa ku bwa Kansala

Omulamuzi wa Kkooti e Iganga Dan Apebbo agobye Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Mbeiza Eric ngono abadde mukiise w’Abavubuka ku Lukiiko lwa Iganga Municipal Council oluvannyuma lwokukizuula nti yagingirira ebiwandiiko byobuyigirize ssaako n’okukyuusa emyaka gye ku ndagamuntu okumusobozesa okugwa mu maka gyobuvubuka. Omulamuzi alagidde Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Sharif Hishaka eyawaaba omusango guno nga yavuganya ne Mbeiza alayizibwe ku kino kino mubunnambiro.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply