Multiplex etadde ekyuuma ku motoka ya CP Nuwabiine

Director Traffic and Road Safety, CP Lawrence Nuwabiine, kyamuweddeko oluvannyuma lwokusanga nga abakozi ba Multiplex basibye ekyuuma ku motoka ye mu kibuga Kampala nga bagamba nti bagibanja ssente za ppaakingi.
Nuwabiine yabadde apaakinze emotoka ye eyabuyonjo wabweru wa offiisi za Uganda Media Centre, gyeyabadde agenze mu lukiiko lwa Bannamawulire yewuunyizza lwaki emotoka ye babadde bagitaddeko ekyuuma.
Babadde balekeddewo n’akabaluwa ssaako ne nnamba yessimu ey’omuntu amanyiddwa nga Isaac gwalina okukubira. Okusinziira ku Multiplex bagamba nti emotoka eyo bagibanja sh66,400 wabula Nuwabiine yategeezezza nti emotoka eno tatera kugikozesa era yewuunya engeri ssente zino gyezawezeemu.
Ono yafunye akatebe ku Kiosk erinaanyeewo nalinda aba Multiplex bebamusindikidde okuggyako ekyuuma kino. Ono era yategeezezza Multiplex nti balina lwakiri okulekerawo ebizimbe ebifo 3 ebitali byakusasulira.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi.  Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu."

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi. Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu." ...

11 0 instagram icon
Naye Tumbeetu!?

Naye Tumbeetu!? ...

55 1 instagram icon
Mubiru Ayub nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga asingisiddwa omusango  gwokukozesa obubi omuntimbago ngaweereza obubaka obuvvoola omukulu w'essomero eryo Mahadi Kayondo nti yali ayesa empiki n'abasomesa be abakyala. 
Ono asingisidwa omusango gw'osasanya amawulire agobukyayi era omulamuzi wa kooti eya Mwanga II Adams Byarugaba namulagira okusasula engagisi ya bukadde 4 mu emitwalo 60 oba okusibwa munkomyo omwaka mulamba. 
Omulamuzi ategeezeza nti ekibonerezo kino kyakuyamba omusomesa okwekuba mu mutima wamu nokukugira abantu abalala abakozesa emitimbagano obubi.
Bya Christina Nabatanzi

Mubiru Ayub nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga asingisiddwa omusango gwokukozesa obubi omuntimbago ngaweereza obubaka obuvvoola omukulu w`essomero eryo Mahadi Kayondo nti yali ayesa empiki n`abasomesa be abakyala.
Ono asingisidwa omusango gw`osasanya amawulire agobukyayi era omulamuzi wa kooti eya Mwanga II Adams Byarugaba namulagira okusasula engagisi ya bukadde 4 mu emitwalo 60 oba okusibwa munkomyo omwaka mulamba.
Omulamuzi ategeezeza nti ekibonerezo kino kyakuyamba omusomesa okwekuba mu mutima wamu nokukugira abantu abalala abakozesa emitimbagano obubi.
Bya Christina Nabatanzi
...

13 0 instagram icon
Tubuuza Wamma Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakozi Be #Nguudo Eyo Live Kusimba 97.3🤟🤟🤟Wegatte Ku Sureman Ssegawa Endongo Evuge 
#12mayblutkbusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#RadioSimba973

Tubuuza Wamma Busolosolo Ki Bwomanyi Ku bakozi Be #Nguudo Eyo Live Kusimba 97.3🤟🤟🤟Wegatte Ku Sureman Ssegawa Endongo Evuge
#12mayblutkbusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#RadioSimba973
...

2 0 instagram icon
Kkooti Enkulu ewozesa bakkalintalo eya International Crimes Division- ICD mu Kamapala egaanyi okuddiza Omusinga wa Rwenzururu  Irema-Ngoma I Charles Wesley Mumbere, emmundu ye ekika kya basitoola wamu namasasi 30. Bya Christina Nabatanzi

Kkooti Enkulu ewozesa bakkalintalo eya International Crimes Division- ICD mu Kamapala egaanyi okuddiza Omusinga wa Rwenzururu Irema-Ngoma I Charles Wesley Mumbere, emmundu ye ekika kya basitoola wamu namasasi 30. Bya Christina Nabatanzi ...

20 0 instagram icon
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina okujja Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi mu nsonga ezigenda mu maaso ku bakulembeze abamu mu NUP, nategeeza nti talina kabi konna kuyali amuwuliddeko.

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nasaba Bannakibiina okujja Omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi mu nsonga ezigenda mu maaso ku bakulembeze abamu mu NUP, nategeeza nti talina kabi konna kuyali amuwuliddeko. ...

52 2 instagram icon