Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 448 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Multiplex etadde ekyuuma ku motoka ya CP Nuwabiine

January 6, 2022 · Mubiru Ali
Director Traffic and Road Safety, CP Lawrence Nuwabiine, kyamuweddeko oluvannyuma lwokusanga nga abakozi ba Multiplex basibye ekyuuma ku motoka ye mu kibuga Kampala nga bagamba nti bagibanja ssente za ppaakingi.
Nuwabiine yabadde apaakinze emotoka ye eyabuyonjo wabweru wa offiisi za Uganda Media Centre, gyeyabadde agenze mu lukiiko lwa Bannamawulire yewuunyizza lwaki emotoka ye babadde bagitaddeko ekyuuma.
Babadde balekeddewo n’akabaluwa ssaako ne nnamba yessimu ey’omuntu amanyiddwa nga Isaac gwalina okukubira. Okusinziira ku Multiplex bagamba nti emotoka eyo bagibanja sh66,400 wabula Nuwabiine yategeezezza nti emotoka eno tatera kugikozesa era yewuunya engeri ssente zino gyezawezeemu.
Ono yafunye akatebe ku Kiosk erinaanyeewo nalinda aba Multiplex bebamusindikidde okuggyako ekyuuma kino. Ono era yategeezezza Multiplex nti balina lwakiri okulekerawo ebizimbe ebifo 3 ebitali byakusasulira.