Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda agguddewo ekizimbe galikwoleka ku ssomero lya Hormisdallen School e Gayaza ekibuddwamu erinnya lye. Ekizimbe kino kya myaliiro esatu nga kyakusomeramu. Essomero lya Hormisdallen lyelyafunye omukisa okutegeka Ekisaakaate ky’omulundi guno. Nnaabagereka gyasiibye ng’alambula Abasaakaate okulaba byebayize.
Maama Nnaabagereka aguddewo ekizimbe ekimubuddwamu ku Hormisdallen
