Kooti eragidde Kayihura ne Nganizi okwewozaako ku bya Besigye.

Kooti e Kasangati enkya ya leero eyisizza ekiragiro eri aduumira Police mu ggwanga General Kale Kayihura ne Wesley Nganizi aduumira police mu mambuka ga Kampala okwewozaako nga tezinnawera ssaawa mwenda eza leero, ku musango gwa Dr. Kizza Besigye gweyawawaabira ogw’okumusibira mu makage.

Dr. Besigye Kati amaze ennaku 31 mu busibe mu makage okuva akalulu k’obwa Pulezidenti lwekaggwa mu gwokubiri nga Police egumbye mu makage.

Kino kiddiridde Ssaabawaabi

Eyaakamaliriza embaga yetuze lwa mabanja.

Namulanga Ronald myaka 34 ye yeggye mu budde nga yaakamaliriza embaga mawuuno mu gombolola ye Ibukulu e Namutumba.  

Asangiddwa ng’alengejjera ku muti waggulu nga waliwo akabaluwa akabadde kalaga amabanja agamuyinze obuzito agateeberezebwa okuba nga yageewoze okukola embaga makeke.

Police eyitiddwa era n’emusalayo ku muguwa era n’esaba abantu okwebuuza ku bannaabwe nga tebannasalawo ku bintu ebimu.

 

Pikipiki esse omuserikale wa Police.

Omuserikale wa police abadde asaabalira ku Boda Boda mu bitundu bye Bukedi afunye akabenje ku piki kw’abadde asaabalira n’afa ng’atuusibwa mu ddwaliro.

Namuleyi David nga abadde akulira Police mu kifo ekimu y’afudde ate abadde a muvuga Wakholi Joseph  ye ali mu ddwaliro apookya

Ayogerera police mu Bukedi region Kamura Soali agamba nti enkuba ebadde ofudemba y’evuddeko kalumanyera ate nga nabo babadde bavuga ndiima. Kitalo.

6 banyiga biwundu lwa kulumbibwa Mbogo .

Abantu 6 basigadde banyiga biwundu oluvannyuma lw’okulumbibwa embogo ebadde tesalikako musale ebalumbye okuva mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kidepo Valley National Park erisangibwa mu disitulikiti ye Kaabong .

Bano omukaaga balumbiddwa nga bagenda ku mirimu gyabwe ku kyalo Agoro mu ggombolola ye Oromo ku bbalaza ya sabbiiti eno .

Innocent Kidega Nono omutuuze mu ka kabuga ke Orom ategeezeza nti abantu bano abana be Evaline Anono omwana we ow’emyezi ena , Charles Opira , omusuubuzi w’embaawo ne Sylvia Aboto, omutuuze mu muluka gwe Lorwar n’omulala omu.

Okusinziira ku Kidega , omukaaga  gwalumbiddwa embogo enkazi eyatolose mu Kkuumiro (Kidepo National park ) lyazo okudduka  ennume bbiri . Ayongerako nti babiri ku baalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro lya St. Joseph Hospital  – Kitgum okuva mu Health center iii .

Ye akulira ekkuumiro ly’ebisolo lino Walter Odokorwot agamba nti baakukola ku by’obujjanjabi bw’abantu bano abakoseddwa  .

 

Abaana 2 basirikkidde mu Nabbambula w’omuliro.

Abaana 2 myaka 4 ne 1 bebasirikkidde mu Nabbambula w’omuliro e Wobulenzi mu disitulikiti ye Luweero. 

Nnyina w’abaana bano Harriet Nassaka abadde afulumye mu nju kugenda kusiika kabalagala n’aleka akataala nga kaaka era kiteeberezebwa nti ke kavuddeko omuliro guno.

Wabula ye muganda wa Nassaka, Rose Namata agamba nti abaana bafudde kiziyiro. Ye ayogerera Police mu bitundu bya Savanah Lameck Kigozi akakasizza kino era Police etutte abakugu mu kunoonyereza balabe ekivuddeko omuliro guno. Kitalo.