Kitalo!
Omwogezi wa
Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga
Uganda Police Force bwetandise okunoonyereza kuligambibwa okubeera ettemu eryakoleddwa ku Mukyala asangiddwa okuliraana ku ttaawo lya Agenda mu Kamuli A’ Zone, Kireka ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso enkya yaleero.
Omukyala atemera mu myaka nga 30 asangiddwa ngasuuliddwa ku kubo nga talina kimwogerako, omulambo ggwe gutwaliddwa mu Ggwanika e Mulago. Okunoonyereza okuliwo kulaga nti yandiba nga yakubiddwa ekintu ku mutwe bweyabadde adduka. Omuntu yenna amumanyi Poliisi emusabye agende ku Poliisi e Kireka oba Poliisi emuli okumpi.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.