Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Hajat Faridah Nambi yaddukidde mu Civil Division eya High Court ngayagala esazeemu okulondebwa kwa Munnakibiina kya National Unity Platform Elias Nalukoola Luyimbaazi ku kifo ky’Omubaka wa Kawempe North era erasure bategeke okulonda okuggya.
Nambi agamba Nalukoola ne ba agenti be bakola ebikolobero mu kulonda ebitagambika mu Kalulu ke Kawempe omwali okugulirira abalonzi, okulemesa Abakakiiko k’ebyokulonda aketengeredde okukola omulimu gwammwe, okunoonya akalulu ku lunaku lwokulonda n’ebirala. Ono era ayagala aliyirirwe ensimbi zanaaba akozesezza mu musango guno.
Bya Christina Nabatanzi