Breaking
News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 327 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Bannamateeka ba Molly Katanga bawakanya ekya Poliisi okuyingira mu kasenge gyebamujanjabira

December 14, 2023 · Mubiru Ali
Bannamateeka ba Molly Katanga aba Kampala Associated Advocates baddukidde ewa Principal Judge Flavian Zeija ayingira mu nsonga zaabwe ne Uganda Police Force gyebalumiriza okulinyirira eddembe lyomuntu waabwe nga batuuse n’okuyingira mu theater mwebabadde bamututte okumulongoosa nebalagira abasawo okubawa ebiwandiiko byonna kwebajanjabira omulwadde ono, nga Bannamateeka bagamba nti kuno kuba kulinyirira ddembe lye eryobuntu.
Bannamateeka bagamba nti Abasirikale ba Poliisi nga bakulembeddwamu Bob Kagarura ne Wathum Beson bakozesezza ekifuba okuyingira mu theater gyebabadde balongoosezza omuntu waabwe ku lwokubiri ne mu ICU nga baagala abasawo basiibule omulwadde atwalibwe mu Kkooti avunaanibwe n’oluvannyuma atwalibwe e Luzira.
Ono wamu ne bawala be 2 bavunaanibwa okwenyigira mu butemu bwa Henry Katanga.