Kitalo! Omu ku bakubiddwa ceiling mu Kampala afudde

Kitalo! OMU AFUDDE;
Uganda Police Force ku CPS mu Kampala eyungudde basajja baayo okugenda ku Ddwaliro ekkulu e Mulago mu waadi ya Casuality oluvannyuma lwokufuna amawulire agakontagana ku muwendo gw’abantu abalumiziddwa ‘ceiling’ y’ekizimbe ekyali kimanyiddwa nga Fido Dido mu Kampala okugwa mu ssaawa z’okusaba. Kigambibwa nti abaduukiriza ab’enjawulo obwedda batwala abantu mu Ddwaliro e Mulago ne malwaliro amalala mu Kampala, e Mulago, kigambibwa nti batutteyo abantu 18 abalumiziddwa.
Omu ku bantu ababadde mu misa ategeerekese nga Maama Naava nga mutuuze w’e Nsambya, kikakasiddwa nti afudde olwebiwundu byafunye. Omubiri ggwe gutwaliddwa mu Ggwanika ly’e Ddwaliro ekkulu e Mulago.
Poliisi era esindise basajja baayo mu malwaliro okwetoloola Kampala okuzuula omuwendo gw’abantu abatuufu abalumiziddwa mu kabenje kano.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omumyuuka w'omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa.

Omumyuuka w`omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa. ...

68 8 instagram icon
Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo 🔥🔥🔥🤟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo 😂😂😂 Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y'Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y`Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
...

26 4 instagram icon
Mukyala w'Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n'maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.

Mukyala w`Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n`maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu.
Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.
...

4 0 instagram icon

61 1 instagram icon