Kitalo! Omu ku bakubiddwa ceiling mu Kampala afudde

Kitalo! OMU AFUDDE;
Uganda Police Force ku CPS mu Kampala eyungudde basajja baayo okugenda ku Ddwaliro ekkulu e Mulago mu waadi ya Casuality oluvannyuma lwokufuna amawulire agakontagana ku muwendo gw’abantu abalumiziddwa ‘ceiling’ y’ekizimbe ekyali kimanyiddwa nga Fido Dido mu Kampala okugwa mu ssaawa z’okusaba. Kigambibwa nti abaduukiriza ab’enjawulo obwedda batwala abantu mu Ddwaliro e Mulago ne malwaliro amalala mu Kampala, e Mulago, kigambibwa nti batutteyo abantu 18 abalumiziddwa.
Omu ku bantu ababadde mu misa ategeerekese nga Maama Naava nga mutuuze w’e Nsambya, kikakasiddwa nti afudde olwebiwundu byafunye. Omubiri ggwe gutwaliddwa mu Ggwanika ly’e Ddwaliro ekkulu e Mulago.
Poliisi era esindise basajja baayo mu malwaliro okwetoloola Kampala okuzuula omuwendo gw’abantu abatuufu abalumiziddwa mu kabenje kano.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply