Kinywa musaayi abaluseewo e Mubende

Ebikolwa ebya kinywa musaayi ebibaluseewo e Mubende bisattiza abatuuze mu kitundu ekiviiridde n’abantu abamu okutandika okuyingira amayumba emisana .

Kino kiddiridde Kakooza Twahabu ali mu myaka 30 – 35 okusangibwa nga asaliddwako omutwe nebalembeka omusaayi gwe gwonna nebakuuliita nagwo.

Kaddu Willy , Ssentebe w’ekyalo Kibyayi B ekisangibwa mu Municipali y’e Mubende enjega eno gyegudde ategeezezza nti bwebwakedde nebatuuka nnyumba ya mutuuze munnaabwe ono enkya ya leero, basanze eddirisa liggule nga n’omulambo gwe gugangalamye ku buliri awatali yadde tondo lya musaayi .

Kaddu annyonyodde nti kirabika waliwo ekibinja kya ba kanywa musaayi ekizinzeeko ekitundu kyabwe kino ekibatadde mu bunkenke era nga n’abamu kati besogga ennyumba misana ttuku .

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

18 1 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

4 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

2 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon