Kinywa musaayi abaluseewo e Mubende

Ebikolwa ebya kinywa musaayi ebibaluseewo e Mubende bisattiza abatuuze mu kitundu ekiviiridde n’abantu abamu okutandika okuyingira amayumba emisana .

Kino kiddiridde Kakooza Twahabu ali mu myaka 30 – 35 okusangibwa nga asaliddwako omutwe nebalembeka omusaayi gwe gwonna nebakuuliita nagwo.

Kaddu Willy , Ssentebe w’ekyalo Kibyayi B ekisangibwa mu Municipali y’e Mubende enjega eno gyegudde ategeezezza nti bwebwakedde nebatuuka nnyumba ya mutuuze munnaabwe ono enkya ya leero, basanze eddirisa liggule nga n’omulambo gwe gugangalamye ku buliri awatali yadde tondo lya musaayi .

Kaddu annyonyodde nti kirabika waliwo ekibinja kya ba kanywa musaayi ekizinzeeko ekitundu kyabwe kino ekibatadde mu bunkenke era nga n’abamu kati besogga ennyumba misana ttuku .

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply