Eyaliko omuduumizi wa Uganda Police Force Gen. Kale Kayihura Gauvmenti emuggyeeko emisango gyebadde emivunaana.
Nga 24-August-2018, Kayihura yavunaanibwa emisango okuli okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa, okulemererwa okulondoola emirimu abasirikale be gyebaali bakola wamu n’okwenyigira mukuwamba abantu.
Ono essaawa yonna awummuzibwa okuva mu ggye lya UPDF mu butongole.