Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwongera amaanyi mu kulwanyisa omusujja gw’ensiri nga bayita mu makubo eg’enjawulo kubanga gukyalina amaanyi nga buli mwaka gutta abantu emitwalo 10.
Mu gamu ku makubo gakubirizza abantu okukozesa mulimu okusula wansi w’obutimba bw’ensiri, okusaawa ensiko ebaliraanye, okuggyawo amazzi agalegamye, n’okukozesa obudagala obugoba ensiri.
Bino ebyagoredde ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu e Bulange – Mengo bw’abadde atongoza enkola y’okugaba obutimba bw’ensiri wansi w’omukago ogwattibwa wakati w’Obwakabaka ne minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.