Kasirye Gwanga akoze ssitaatimenti ku Police ku by’okwokya Ttulakita

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Brigadier Kasirye Gwanga omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyokwerinda mu ggwanga aliko ssitaatimenti gy’akoze ku Police ku by’okwokya bbunduuza gyeyakumako omuliro gyebuvuddeko bweyali egezaako okusenda ku ttaka lye erisangibwa e Lweza mu Kampala.

Gwanga ssitaatimenti eno agikoledde ku Police y’e Katwe era n’akkirizibwa okugenda ku kakalu ka Police okutuusa ku bbalaza ya ssabbiiti ejja lw’anaddamu okulabikako.

Ayogerera ekitongole kya Police ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate agambye nti Ssaabawaabi wa Gavumenti bw’anamaliriza okuteekayo fayiro , Kasirye Gwanga w’akulabikako mu kkooti.

Share.

Leave A Reply