IGP Ochola ayisiza ebiragiro ebipya

Omuduumizi wa Poliisi mu Uganda Martins Okoth Ochola ayisiza ebiragiro ebipya ku kukwata abateberezebwa okuba abazzi b’emisango.

IGP Okoth Ochola ayimirizza mbagirawo eky’okukwata oyo yenna ateberezebwa okuzza omusango nga tebanagulawo file ku Poliisi kino nga kibadde kikozesebwa nnyo Poliisi. Era nga ekiragiro ekikwata omuntu yenna kirina kuyisibwa Unit Supervisor oba Commander.

IGP Ochola agamba nti emirundi mingi abantu babadde bakwatibwa naye nga bakama baabwe tebakimanyiiko. Yayongedde nategeeza nti Omusirikale yenna okukwata omuntu alina okumatiza nti ddala gwakwata alina okumukwata era nga Omusirikale omusajja alina kukwata musajja ate omusirikale omukazi nakwata omusibe omukyala.

Yagambye nti n’abantu abakwatibwa ebitongole by’ebyokwerinda ebirala balina okukwasibwa Poliisi.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among awadde ebiragiro ebiggya ku Babaka abebulankanya mu ntuula za Palamenti. Ono agamba nti balonda Ababaka abasoba mu 500 okukiikirira abantu naye abalabikako mu ntuula za Palamenti balubatu neyewuunya gyebabeera.

Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among awadde ebiragiro ebiggya ku Babaka abebulankanya mu ntuula za Palamenti. Ono agamba nti balonda Ababaka abasoba mu 500 okukiikirira abantu naye abalabikako mu ntuula za Palamenti balubatu neyewuunya gyebabeera. ...

3 0 instagram icon
Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok.
Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse.
Bya Kamali James

Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok.
Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse.
Bya Kamali James
...

8 0 instagram icon
Omumyuuka w'omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa.

Omumyuuka w`omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka eyakoze akatambi nga yewaana nga bwebamutwalira amasimu agabiddwa ku bantu okugakyuusa. ...

81 9 instagram icon
Nze ntuusewo πŸ”₯πŸ”₯πŸ”₯🀟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo πŸ˜‚πŸ˜‚πŸ˜‚ Live Ku 97.3 
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa

Nze ntuusewo πŸ”₯πŸ”₯πŸ”₯🀟 ssaawa Yandoongo Baaba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi #Kubabala Abantu Eyo πŸ˜‚πŸ˜‚πŸ˜‚ Live Ku 97.3
#1juneneyimbirabyangefinalsnimrodluwero
#suremanssegawa
...

0 0 instagram icon
Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y'Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.

Kitalo!
Eyaliko omusambi wa ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y`Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
...

27 4 instagram icon