Breaking
News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku St Mark High School e Kayunga. News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya kwaleero nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga Bugerere. Okuyingira News: Program Gasimbagane ne Bannamawulire mwebakwatidde Charles Rwomushana olwaleero, ekusubye?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 124 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

IGP Ochola ayisiza ebiragiro ebipya

July 2, 2018 · Mubiru Ali

Omuduumizi wa Poliisi mu Uganda Martins Okoth Ochola ayisiza ebiragiro ebipya ku kukwata abateberezebwa okuba abazzi b’emisango.

IGP Okoth Ochola ayimirizza mbagirawo eky’okukwata oyo yenna ateberezebwa okuzza omusango nga tebanagulawo file ku Poliisi kino nga kibadde kikozesebwa nnyo Poliisi. Era nga ekiragiro ekikwata omuntu yenna kirina kuyisibwa Unit Supervisor oba Commander.

IGP Ochola agamba nti emirundi mingi abantu babadde bakwatibwa naye nga bakama baabwe tebakimanyiiko. Yayongedde nategeeza nti Omusirikale yenna okukwata omuntu alina okumatiza nti ddala gwakwata alina okumukwata era nga Omusirikale omusajja alina kukwata musajja ate omusirikale omukazi nakwata omusibe omukyala.

Yagambye nti n’abantu abakwatibwa ebitongole by’ebyokwerinda ebirala balina okukwasibwa Poliisi.