Hon. Ssegiriinya aduukiridde omwana alina ekizimba mu lubuto e Busia

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates aduukiridde omukyala Nandudu Immaculate okuva e Masafu mu Busia ng’ono agamba nti omwana we Nadunga Precious yakeberebwa nasangibwa nekizimba mu lubuto nga yetaaga okulongoosebwa era nga bamusaba obukadde 2. Amuwadde ssente agenda balongoose omwana ono.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply