Gavumenti ewadde Tooro tulakira 2

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi Hon. Frank Tumwebaze ngayita mu NAADs olunaku lw’eggulo yawaddeyo ttulakita bbiri eri Obwakabaka bwa Tooro okutuukiriza ekigendererwa kya MAAIF okulaba nti etumbula ebyobulimi obuvaamu ensimbi.
Ttulakita zino yazikwasizza Omukama Oyo ku ffaamu ye eya King Oyo Model Farm esangibwa ku kyalo Bukaiko, Bugaaki Sub-County mu Disitulikiti y’e Kyenjojo. Ffaamu eno eri ku yiika 134 nga eyamba ku bayizi n’abalimi okuyiga ennima eri ku mulembe.
Omukama Oyo yasiimye Gavumenti ng’eyita mu MAAIF olwokuwagira emirimu gya Tooro. Yakubirizza abavubuka okukola ennyo bave ku muze gw’okusabiriza. Agamba nti bafube okutandika n’ekitono n’oluvannyuma basabe Gavumenti ebayambeko.
Share.

Leave A Reply