FUFA Ethics Committee ebonerezza omutendesi wa Police FC

Akakiiko k’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) akakwasisa empisa aka FUFA Ethics and Disciplinary Committee kaweesezza engasi omutendesi wa Uganda Police Football Club Abdallah Mubiru ya bukadde 2 olwebyo byeyayogera oluvannyuma lw’omupiira gwebasamba ne ONDUPARAKA FOOTBALL CLUB wamu n’okuvuma ‘Match official’. Agaaniddwa okwenyigira mu muzannyo gw’omupiira okutuusa nga asasudde ssente zino.
Mubiru avunaanibwa okumenya etteeka lya FUFA Competition Rules (FCR Article 31 and 31(2).
Ono era awumuziddwa okumala emyezi 2.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply