Eyalamula ogwa Onduparaka awereddwa okutuusa June-2022

#SimbaSportsUpdates;
Ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) kivuddeyo nekifulumya alipoota oluvannyuma lwokwekeneenya akatambi akakwatibwa mu mupiira gwa Uganda Premier League 2021/22 ogwali wakati wa Onduparaka FC ng’eyambalagana ne KCCA FC nga 27-Dec-2021 ku Green Light Stadium.
Akatambi kano kaweerezeddwa mu Referees Technical Panel nebekkaanya okusalawo okwakolebwa Centre referee Ronald Madanda.
Referees Technical & Development Panel ng’etuulako; Katabira David, Adipo Catherine me Shaban Mohammad Ndawula, bano bakizudde nti penati eyaweebwa Onduparaka mu ddakiika eya 45 yali terina kugabibwa kuba omupiira gwakuba ku lubuto lw’omusambi wa KCCA FC, Referee yali ayimiridde bubi n’ensoma ye ey’omuzannyo guno yali mbi.
Penati gyeyawa KCCA FC mu ddakiika 90+ 7 yaliyo kuba omusambi wa Onduparaka yakwata era nasika omusambi wa KCCA FC mu 18-yard box wadde nga yegaana.
Wabula Referee yali ayimiridde bubi nga n’omuzannyo yagusoma bubi nga kwotadde n’okutambula obubi. Ono yali wala nnyo yagenda okutuuka ng’omusambi wa KCCA FC ali ku ttaka.
Madanda nga Centre Referee yakirizza okugaba Penati enkyaamu eri ONDUPARAKA FOOTBALL CLUB ate ye 1st Assistant Referee Kalule Michael nategeeza nti teyalina mukono mukugaba penati ya Onduparaka kuba singa yali ye teyandigiwadde. Ono yayongeddeko nti yeyategeeza Centre Referee ku penati eyeddakiika 90+ 7 eya KCCA FC.
Akakiiko kakizudde nti Centre Referee Madanda Ronald yalemererwa okugoberera n’okukozesa amateeka ga FIFA mu mupiira nti era omupiira guno teyagulamulira ku mutendera gwa Referee ali ku mutendala gwa FIFA nti era byayasalawo byalina okusalawo okwamaanyi ku biki ebyali birina okuva mu mupiira guno.
Madanda yayimiriziddwa obutaddamu kukomonta firimbi ku mutendera gwonna ogw’omupiira okutuusa nga 30-June-2022 embagirawo.
Ensonga ye yasindikiddwa mu kakiiko akanoonyereza aka Ethics Committee okuzuula oba nga okusalawo kweyakola mu mupiira guno kwali kugenderere okuvaamu byayagala oba nga yakikola mu butanwa.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo.

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo. ...

43 2 instagram icon
🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati 
#RadioSimba973
#suremanssegawa

🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati
#RadioSimba973
#suremanssegawa
...

14 0 instagram icon
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n'abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n`abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. ...

28 0 instagram icon
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police  Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James
...

24 1 instagram icon
Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza!

Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza! ...

30 3 instagram icon