etteeka ku basawo b’ekinnansi n’abatabuzi b’eddagala lireetebwa gavumenti

Abasawo b’ekinnansi n’abatabuzi b’eddagala babaleetedde etteeka ekkakali eribakaka okuddayo okusoma, Gavumenti eryoke ebawe ebbaluwa ezibakakasa okukola omulimu gw’okujjanjaba abantu.
Okusalawo okukola etteeka ku basawo b’ekinnaansi n’abatabuzi b’eddagala kiddiridde Gavumenti okukizuula nti, waliwo okuwubisa n’okunyagibwa okukolebwa abantu abamu abali mu mulimu guno.
“Omusajja ateesobola ng’amaka gaakutabukako, jjangu dokita Mpewedde akusalire amagezi otandike okusamba 90, bakomye okukongooza ebigere n’abamu okukuyita ssasi limu”; bwe bumu ku bulango abasawo b’ekinnansi bwe bakozesa kyokka ng’abakungu mu Gavumenti bangi babukolokota.
Ebbago ly’etteeka lino eryayanjuddwa omulundi ogwokubiri mu Palamenti liwera eky’abasawo b’ekinnansi okweranga era lissaawo obuyigirize obw’essalira omusawo w’ekinnansi bw’alina okuba nabwo era etteeka libakugira n’okwetuuma amannya g’abasawo ab’Ekizungu,gamba ng’okweyita Dokita.
Etteeka lino erisuubirwa okuyisibwa mu bwangu, lituumiddwa ‘Indigenous and Complementary Medicine Bill, 2015’.
Lyasomwa omulundi ogwasooka mu Palamenti nga March 12, 2015 ne lisindikibwa mu kakiiko k’ebyobulamu lyongere okwekenneenyezebwa n’okulikubaganyaako ebirowoozo era ne bavaayo ne lipoota.
Etteeka terikwata ku bajjanjabisa ddagala lya kinnansi bokka,wabula n’abakozesa enkola y’okujjanjaba endwadde nga tokozesezza ddagala nga; ‘Homeopathy ne Naturopathy’ abakkirizza nti, endwadde esobola okuwona n’okwewalibwa nga tebakozesezza ddagala, wabula okugoberera endya ekulagiddwa, okukola dduyiro ne “masaagi”. Etteeka era lifuga n’abakozesa ‘Reflexology’ okujjanjaba nga batigaatiga emisuwa.
Dr. Michael Bukenya Iga (Bukuya) ssentebe w’akakiiko k’ebyobulamu aka Palamenti akeekeneenyezza ebbago ly’etteeka lino yategeezezza nti, lireeteddwa mu mutima mulungi okusobola okutereeza omulimu guno.
Eddagala ly’ekinnansi baagala libeere nga lisobola okulondoolwa omutindo awamu n’eddala erigwa mu kiti ky’ekimu nga liva ebweru w’eggwanga. Okuwagira eby’okunoonyereza n’okulikuuma obulungi.
Okunoonyereza okukoleddwa ku ddagala lino kujja kuyamba okulwanyisa obwavu nga kutondawo emirimu n’okugaziya ennyingiza y’abantu.

Okuyamba abalwadde okufuna eddagala eriri ku mutindo nga beewala abafere abayinza okweyingiza mu mulimu guno.

Bukenya yategeezezza nti mu kubaga etteeka lino beebuuzizza ku bantu abawerako omuli abasawo ab’Ekizungu, abatunda eddagala lino nga baatuuka n’okugenda mu mawanga g’ebweru nga Ghana ne Buyindi okusobola okumanya engeri gye bakwatamu ensonga eno.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute!

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute! ...

0 0 instagram icon
Sipiika Anitah Among yeyamye akawumbi kalamba kagenda okuwaayo mu misinde gya Cancer Run 2024.

Sipiika Anitah Among yeyamye akawumbi kalamba kagenda okuwaayo mu misinde gya Cancer Run 2024. ...

10 0 instagram icon
#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa

#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa
...

3 0 instagram icon
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE aka Mr. Updates mu ddwaliro lya IHK e Nairobi mu Kenya. Omubaka akubye ku matu era essaawa yonna wakusiibulwa adde okwaboobwe.

NB: Omubaka atukirizza okukozesa ekifaananyi kino.

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE aka Mr. Updates mu ddwaliro lya IHK e Nairobi mu Kenya. Omubaka akubye ku matu era essaawa yonna wakusiibulwa adde okwaboobwe.

NB: Omubaka atukirizza okukozesa ekifaananyi kino.
...

6 0 instagram icon
Mbu mugule emotoka ezebbeeyi!

Mbu mugule emotoka ezebbeeyi! ...

54 6 instagram icon
Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka  Twegatteko Now 
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa

Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka Twegatteko Now
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa
...

6 0 instagram icon