Emmere gyemunangira nsobola okugyerimira ku ffaamu zange – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Waliwo obubaka obwobulabe okuva eri Bart Nsubuga , UK NUP ne Paul Kaziba. Nsubuga yewuunya lwaki nkyayogera ku bonna bagaggawale, nga mbaddewo ku nsimbi z’omuwi w’omusolo okumala emyaka 40!
Ndugu Nsubuga, ebiwayi 2 ebya muwogo (otushate), kawo, nakalo wamu ne gulaamuzi 200 ez’ennyama emirundi 3 wiiki wamu n’ebikopo by’amata 3 olunaku wamu n’emmere entono Maama Janet Kataaha Museveni gyalya buli lunaku tusobola okugifuna okuva ku ffaamu zaffe e Ntungamo, Rwakitura, Kisozi nendala.
Tewali muntu n’omu mu Famire yange yali akolera Gavumenti okutuusa 1965, bwenatandika okusomesa mu ssomero lya Gavumenti erya Bweranyangyi Senior Secondary School, omwaka gweryatandika. Mu myaka 63 gyembadde mu kununula Afirika, nfunyeemu kitono nnyo ng’omuntu bwembigeraageranya ne byenandifunye nga nkola byange singa waliwo emirembe mu Uganda.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply