Ebyapa by’ettaka okuli ekitebe nennyumba ya Ambassador wa Uganda e S.Africa tebirabikako

Ababaka bawuunikiridde olunaku lw’eggulo omukungu okuva mu Uganda Land Commission bweyabategeezezza nga ebyapa by’ettaka okuli ekitebe kya Uganda mu Pretoria wamu n’ekyamaka ga Ambassador bwebitakubwako kyamulubaale nga neyaliko Omubaka wa Uganda e South Africa naliko kati bategeezezza nti tebabirabangako mu offiisi.
Andrew Nyumba yategeezezza nti Minisitule y’ensonga z’ebweru yabasabye bigiwe ebyapa bino wabula bwebakebedde nga tebiriimu.
Ono agamba nti yayogedde ne Ambassador Paul Amoru, namutegeeza nti tabirabangako wabula namutegeeza nti yabadde wakunoonyako mu ‘deeds office’ e South Africa, nti era bwekiba kisoboka bajja kufuna ekirala.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply