Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 288 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Bemugamba abawambibwa baddukira bweru wa Ggwanga – Faruk Kirunda

November 2, 2023 · Mubiru Ali
Amyuuka Munnamawulire wa Pulezidenti, Kirunda Faruk yavuddeyo nategeeza nti ye takkikiriza nti abantu aboogerwako aba National Unity Platform nti baabuzibwawo Gavument.
Kirunda agamba abantu abamu be balumiriza nti baabuzibwawo badduka mu Ggwanga nebagenda baasaba obubuddamu nebagenda mu Mawanga nga Canada, America, Bungereza ne Butuluuki nga n’abakulu ku ludda oluvuganya kino bakimanyi bulungi naye tebaagala kukyogerako kuba kibattira omuzannyo gwabwe gwebalimu.