Bannayuganda abasoba mu 200 bebasiraanidde e Egpyt, India ne Myanmar – Minisita Mulimba

Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga John Mulimba Yokana avuddeyo nakakasa nti Bannayuganda 290 bebasiraanidde mu mawanga okuli; India, Egypt ne Myanmar nga bano bakukusibwa okuva e Uganda nga babasuubizza emirimu egisasula ssente ennyingi nti wabula ebiriwo biraga nti abamu ku bano bandiba nega batwalibwa mu bikolwa ebyobuyeekera. Minisita agamba nti ebiwandiiko byabalinako biraga nti Bannayuganda 30 bebali mu matwale gabayeekera nga 16 bali mu nkambi ye Bailo Compound – Kayin State n’abalala 14 bali mu UK Compound. Ayongeddeko nti ebitongole ebimu byawaddeyo dda Bannayuganda 60 abetaaga okuyambibwa okukomezebwawo mu Ggwanga nga bagamba nti tebasobola kutuukiriza bisaanyizo byateekebwawo Gavumenti ya Egypt. Ayongeddeko nti Bannayuganda abakyasiranidde mu Egypt tebamanyiddwa muwendo kuba tebewandiisa ku kitabe nga batuuseeyo nekirala nti waliyo abaliyo mu bumenyi bw’amateeka.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply