Bannansi ba Congo 14 bakwatiddwa lwakukusa bikozesebwa mu nvuba embi

Ekitongole ekirwanyisa envuba embi okuva mu Uganda Police Force ekya Fisheries Protection Unit kyakutte Bannansi b’eggwanga lya Democratic Republic of Congo 14 nga kigambibwa nti bano babadde bakukusa ebintu ebikozesebwa mu nvuba embi nebabayingiza mu Uganda nga beyambisa ennyanja Muttanzige. Mu ngeri yemu waliwo ne Bannayuganda 16 abakwatibwa mu Ggwanga lya DRC bano nga baalina amado ne yingini ebitali mu matera era nga nabo bakwasiddwa Poliisi yakuno okuvunaanibwa.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply