Bannamateeka mulekeraawo okumala obudde nga mutuuze enkiiko ku nsonga ezitalina makulu – Kiryowa

Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka atabukidde abalamuzi ne Bannamateeka olw’okuyita nga enkiiko ezitalina makulu ne balema okukola emirimu .
Kiwanuka anokoddeyo olukiiko lwebaatuuza gyebuvuddeko okwogera ku bbaluwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gyeyasindikira Ssaabalamuzi wa Uganda ng’emulagira atunule mu nsonga z’enkaayana ku by’obugagga naddala ettaka eziri mu ddiini y’Obusiraamu kyagamba nti kyali tekyetaagisa wadde. Kiryowa era asinzidde wano n’asaba Bannamateeka okwewala okukola ebikolwa ebiweebula abalamuzi n’abasaba okweddako. Bino bibadde ku Kkooti Enkulu ku mukolo gw’okutongoza “New Law Year 2024”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply