Ekibiina kya National Unity Platform kivuddeyo nekitegeeza nga Uganda Police Force olunaku lw’eggulo bweyasazeeko offiisi z’ekibiina kino mu Kibuga Gulu nekwata abantu 3 okuli; Mungu Brian, Sebastian Ogoni ne Ocira Boniface. Mungu ne Ogoni basimbiddwa mu Kkooti nebavunaanibwa emisango Poliisi gyegamba nti bagizza emyezi egiyise.
NUP egamba nti oluvannyuma RDC wa Gulu yavuddeyo nategeeza nti babadde balina okukwatibwa okusobola okulemesa okwekalakaasa kwonna okwabadde kusuubirwa okubeerawo nga baagala okutaataganya olutuula lwa Palamenti. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 4 September.
#ffemmwemmweffe
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.