Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 576 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Abasajja 4 abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa Kkooti ya KCCA nebavunaanibwa omusango

June 12, 2026 · Radio Simba

⚽ Abasajja 4 abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya KCCA nebavunaanibwa omusango gwobutemu. Basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23-June.
Bano kuliko: Mugwiisa Obed 39, omuvuzi wa booda booda omutuuze we Nsimbiziwoome, Eli Mondoni nga Delivery Agent wa Pharmacy era omutuuze w’e Luzira Port Bell, Joseph Owino Omukuumi wa Kkampuni y’obwa nnannyini ne Kabugo Henry nga muvuzi wa booda booda e Bukoto – Old Kira Road mu Nakawa.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwezi gwa June guno ku luguudo lwa Upper Naguru East Road mu Kampala n’ettima erisukiridde bakuba Sydney Gongondyo Gabi nebamutta nga bamuteebereza okubeera omubbi.
Bano bakwatibwa ku katambi nga bakuba Sydney ow’emyaka 27 oluvannyuma lwokumuteebereza okunyakula akasawo k’omukazi.
Bano bamukubya bbuliti ssaako amatafaali nafiira mu ddwaliro.
Omulamuzi Edgar Karakire tabakirizza kubaako kyeboogera kuba omusango ogubavunaanibwa gwa nnaggomola nga guwulirwa Kkooti Enkulu yokka.
Ban

Radio Simba News