Breaking
News: Naye nga kyosubwa okimanyi! E Kavumba kyakutte dda. News: Ensi ya Neyimbira 2026 tuli eno mu Las Vegas e Kavumba kitokota baaba. News: Neyimbira Byange Finals 2026
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 198 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Nabbingo mu Busiro okwetaba ku mukolo ogwokujaguza emyaka 84 egyessomero lya Trinity College Nabbingo.

June 14, 2026 · Radio Simba

🗳️ Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Nabbingo mu Busiro okwetaba ku mukolo ogw’okujaguza emyaka 84 egy’essomero lya Trinity College Nabbingo.

Omusumba w’essaza ekkulu ery’e Masaka Serverus Jjumba y’akulembeddemu mmisa ku mukolo guno.

Omukolo gwetabiddwako Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate ng’ono yaliko omukulu w’essomero lino, guliko Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, Bannabyabufuzi, Bannabyanjigiriza, abakulembeze b’essomero lino, abayizi abaasomerako wano n’abaliwo, abazadde n’abantu abalala.

Essomero lino lyatandikibwawo mu Mukutulansanja wa 1942 era libangudde abaana b’eggwanga bangi ddala.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News