Balondemu aziddwayo ku alimanda

Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID bizzeemu okutwala Ssentebe wa Kakiiko k’ebyettaka owa Disitulikiti y’e Kampala David Balondemu mu Kkooti y’Omulamuzi wa Buganda Road wamu ne Ibona Joseph ku misango gyokufuna ssente mu lukujjukujju wamu n’okwekobaana okuzza omusango.
Kigambibwa nti bano n’abalala abatanakwatibwa nga bakolera wansi wa kkampuni ya Bannamateeka eya M/S Bloom Advocates bafuna ensimbi obuwumbi 2 mu obukadde 200 okuva mu Kkampuni y’Abamerika KG Unlimited LLC, nga berimbise mu kugiwa kkontulakita yokuguza Minisitule y’ebyobulimu drone ezifuuyira eddagala wamu n’ebigimusa ekitaali kituufu.
Basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 22/11/2023.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply