Onyango anyusse omupiira ku ttiimu y’eggwanga

ONYANGO ATADDE TTIIMU Y’EGGWANGA: https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Omukuumi wa Ggoolo ya Uganda CranesDenis Masinde Onyango avuddeyo nategeeza nga bwanyuse omupiira ku Ttiimu y’Eggwanga; “Nsazeewo nangirire ne naku nnyingi nti nsazeewo okuwummuza giraavuzi zange ku ttiimu y’eggwanga. Oluvannyuma lwokwogera ne famire yange, maneja nange okwefumiitiriza nsazeewo mpummule. Nebaza nnyo buli Munnayuganda ababaddewo emyaka gyonna.” https://youtu.be/IjZGoWT39vA

Bannamateeka ba Bobi Wine balinze alipoota ya URA ku motoka

TULINZE ALIPOOTA YA URA KU MOTOKA YA BOBI WINE: https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Bannamateeka ba Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine aba Wameri and Co. Advocates bavuddeyo nebategeeza nga bwebabukeerezza nkokola ku kitebe ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okubeera nga baddamu okwekebejja emotoka y’omuntu waabwe. Bagamba nti era bagitutte ku minzaani okupima obuzito bwayo nga bawerekerwako eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF nga kati balindilira alipoota ya URA era nga nti yasasula omusolo mutono bamumbuulira gwalina okusasula oba okugibawa awatali kakwakulizo. Wabula bagamba nti bakiwuliddeko nti omuntu waabwe yalina okufuna olukusa okuva mu maggye okuleeta emotoka etayitamu masasi kyebawakanya nti tewali tteeka likirambika. Bafune wano: https://youtu.be/IjZGoWT39vA

Kitalo! Eyaliko Minisita Kiryapawo afudde

Kitalo!
Eyaliko Minisita era Electoral Commissioner Dr Thomas Sisye Kiryapawo afudde. Ono afudde kkookolo womubyenda ku Ddwaliro lya TMR International Hospital, Kampala ku myaka 78. Okusinziira ku Mw. Micheal Kirya, agamba nti Kiryapawo abadde mulwadde okumala akabanga. Kiryapawo yazaalibwa mu 1943 mu Disitulikiti y’e Budaka. Omubiri ggwe gwakutwalibwa mu maka ge mu Kampala nga 21-April okukuma olumbe, gutwalibwe mu kkanisa nga 22-April okusabirwa okuva ku ssaawa nnya ez’okumakya gyegunagibwa gutwalibwe Iki-Iki mu Budaka aziikibwe nga 24-April.
Kiryapawo yatandika nga veterinary oficer owa Iganga-Njeru oluvannyuma nafuulibwa commissioner Artificial insemination ow’e Entebe. Yawummula emirimu nayingira ebyobufuzi mu 1995 nawangula ekifo ky’omubaka owa Budaka County mu by-election oluvannyuma lw’okufa kw’omubaka Sam Gole eyali akiikirira ekitundu kino. Kiryapawo yaddamu nalondebwa mu kifo kino mu kalulu ka 1996 nalondebwa ng’omubeezi wa Minisita ow’ebyenfuna avunaanyizibwa ku Ntandikwa. Oluvannyuma yalondebwa ng’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byobugagga ebyomuttaka wamu n’ensonga z’obuwangwa.
Yawummula ebyobufuzi mu 2001 nalondebwa nga mmemba ku Kakiiko k’ebyobulamu mu 2002, oluvannyuma nalondebwa nga ng’Omubaka wa Yuganda mu Bungereza gyeyava naleetebwa mu Kakiiko k’ebyokulonda mu 2006 okumala emyaka nga 7.
Yaliko omubaka wa Yuganda owa Republic of Ireland. Abadde mufumbo, nga mukyala Loi Kiryapawo amulinamu abaana 5 nga 4 bali bweru waggwanga.

NRM etuweeyo obuwumbi 22 tweyozeeko enaku

BATUWE KU SSENTE TWEYOZEEKO ENAKU: https://youtu.be/ymBWqRaurK4
Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abawerera ddala 450, abaawangulwa mu kalulu akawedde aka 2021 naddala mu Kampala ku mitendera egy’enjawulo basabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveniokubaduukirira lwakiri n’obukadde 50 buli omu basobole okwekubako enfuufu bwebuwumbi 22 n’ekitundu.
Abaffe obunafu bwabwe obwabawanguza ate bulina kuliyirirwa? https://youtu.be/ymBWqRaurK4

Sinawambibwa yadde okubulawo – Dr. Kabagambe

ABADDE AGAMBIBWA OKUBULA KU LUNAKU LW’EMBAGA ALABISE:
Kigambibwa nti Dr. Mbusa Kabagambe Patrick avuddeyo; “Abemikwano ne famire,
Newuunyizza nnyo era kinkubye wala bwendabye ebitambuzibwa ku WhatsApp ne Social Media nga byange nti nabuzeewo ku lunaku lw’embaga.
Njagala okubategeeza nti tewabaddewo mbaga yonna kuba nagisazaamu ku lwokuna nga 8-April, 2021. Abantu bonna nabategeeza nabategesi.
Tewabaddewo kukima mugole (Christabella Banturaki), era tewali bagenyi bazze.
Njagala okubategeeza nti sinawambibwa era sabuzeewo okuwandiikibwako obubi bwentyo.
Ndi mulamu wabula nasazeewo okwewumuzaamu olwebyo byempiseemu.
Ndi mulamu era ndi ne famire yange wamu n’emikwano gyange egyokulesegere. Mbasaba kino mukiwe ekitiibwa kuba nsonga yamunda muffe.
Dr. Mbusa Kabagambe Patrick”

Omugole abuzeewo ku lunaku lw’embaga

OMUGOLE OMUSAJJA ABUZEEWO KU LUNAKU LW’EMBAGA: https://youtu.be/7tpXm6QygnE
Eryabadde lirina okubeera essanyu bwerityo lyagweredde mu kiyongobero Omugole omusajja bwatalabiseeko mu Kkanisa ku lwomukaaga. Waliwo ebitambuzibwa ku Social Media nti Dr Patrick Mbusa Kabagambe eyabadde alina okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ku lwomukaaga teyalabiseeko bwebatyo nebaddukira e Kasangati ku Poliis nebaggulawo omusango.
Ms Kobusingye Christabella nga ye mugole omukyala yeyaduddewo omusango ku fayiro nnamba SD REF 22/10/04/2021 nga agamba nti nessimu ze ezimanyiddwa teziriiko. Kigambibwa nti yabuzeewo ku lunaku lw’embaga mu Motoka nnamba UBH 905X. https://youtu.be/7tpXm6QygnE