Abasirikale abafulumya ebyaama bya Poliisi bakwatibwe – DIGP Lokech

ABASIRIKALE BONNA ABAFULUMYA EBYAAMA BYA POLIISI BAKWATIBWE: https://youtu.be/IjZGoWT39vA
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Paul Lokech avuddeyo nalagira batandike okunoonyereza ku basirikale ba Poliisi abasomola ebyaama oba ebiragiro ebiba ebyomunda nebabiwa abantu babulijjo.
Lokech, agamba nti kimukubye wala engeri ebintu ebyekyaama gyebivulumizibwa nebituuka ku ‘social media’ ekikontana n’amateeka agabafuga.
Lokech agamba nti ekikolwa kino kirina okukoma bunnambiro nalagira abaduumizi ba Poliisi okukuuma Radio Rooms n’ebitabo byabwe obutiribiri. Alagidde Director w’ekitongole kya Poliisi ekya Crime Intelligence Brig. Chris Damulira, okutandika okunoonyereza ku basirikale abakikola bavunaanibwe. https://youtu.be/IjZGoWT39vA

Abebyokwerinda tebawambanga ku muntu yenna – Minisita Kutesa

ABEBYOKWERINDA TEBAWAMBANGA KU MUNTU YENNA: https://youtu.be/6iXM0rZXHgA
Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kahamba Kutesa yavuddeyo nategeeza abakungu okuva mu U.N. Security Council okuli abava mu; USA, UK, China, France ne Russia n’omubaka wa European Union mu Yuganda, nabasomera alipoota eyavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa Gavumenti bwegugungo obwaliwo mu Kampala n’ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Minisita Kutesa agamba nti ebyaliwo nga 18-November byali tebisaanidde nti era ebitongole ebikuuma ddembe tebiwambanga ku muntu yenna nga bwebyogerwa nti oyo yenna omumenyi wamateeka akwatibwa navunaanibwa mu mbuga. https://youtu.be/6iXM0rZXHgA

Mukama Katonda ttaasa Kabaka waffe – Bebe Cool

ALLAH TTAASA KABAKA WAFFE: https://youtu.be/Yf1n8qCvLfc
Moses Ssali aka Bebe Cool; “Ng’Omuganda era Omuganda omupya ataliwankwe nenyumiriza nnyo mu buwangwa bwange n’eggwanga lyange. Naye mu mazima kiki Kabaka wa Buganda kyakyakola mu Uganda mu mbeera eyo ey’obulamu gyalimu, kiki kyemutalaba? Kati buli omu asirise.
Abantu bonna abebitiibwa bwebalwala batwalibwa bweru wa Ggwanga nebaweebwa obujanjabi obusingawo naye ku Kabaka, Buganda esirise ne Loodi Meeya Erias Lukwago buli lwafinamu akasujja swiiii Nairobi, yiiyi Katikkiro Charles Peter Mayiga nammwe abakulu mu Buganda kigendererwa ki kyo?
Ye maama, lwaki mwamuleese mu bantu ku mukolo awali n’abamawulire nga ali mu mbeera bwetyo? Kumulabisa? Kiki? Nsaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni aveeyo akiyingiremu ababuuze akana nakataano nga embeera y’obulamu bwa Kabaka tenasajjuka.
Allah ttaasa Kabaka wa Buganda.
ALLAHU-AKBAR.”
https://youtu.be/Yf1n8qCvLfc

UGANDA ETAMBUZIBWA KU MUNTU OMU YEKKA – Hon. Olanya

UGANDA ETAMBUZIBWA KU MUNTU OMU YEKKA: https://youtu.be/1RD_XxdM6Ak
Hon. Gilbert Olanya; “Teri Minisita mu Yuganda agenda kujja wano ayogere ebibye nga bigenda kuyamba okutwala eggwanga mu maaso. Ekintu kyonna ekirina okubaawo mu Ggwanga balina kwebuuza ku ‘Musajja’ omu yekka. Olunaku bwerulikeera nga taliiwo, eggwanga lijja kubeera mu katyabaga kennyini akatagambika.” https://youtu.be/1RD_XxdM6Ak
#PlenaryUg

Palamenti eyisizza ebbanja eddala

PALAMENTI EYISIZZA EBBANJA LYA BUKADDE BWA DDOOLA 105: https://youtu.be/1RD_XxdM6Ak
Olukiiko olukulu olw’eggwanga olunaku olwaleero nga lukubirizibwa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga luyisizza ekiteeso kyokwewola ensimbi eziwereza ddala obukadde bwa ddoola 90 okuva mu IDB wamu n’obukadde obulala 15 obwa ddoola okuva mu BADEA nga zino zakuyambako mu kukulakulanya okulima nga bafukirira ebirime mu bitundu by’e Unyama, Namalu ne Sipi wamu n’ebifo ebirala 96 ebitonotono. https://youtu.be/1RD_XxdM6Ak