Breaking
News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa, News: Minisitule yebyentambula nenguudo mu Ggwanga eguddewo mu butongole olutindo ku mugga Katonga ku luguudo lwe Masaka okutandika okukozesebwa
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 142 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM
News

RDC ssente z’abavubuka ziriwa? – Pulezidenti Museveni

October 15, 2025 · Mubiru Ali
Omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ataasiza amyuuka RDC wa Disitulikiti y’e Maracha Monica Koliba okuganjabulwa abatuuze ababadde bataamye obugo ku nsonga ya ssente eziweebwa abamalirizza okusomesebwa Gavumenti eby’emikono okwetandikirawo emirimu.
Olunaku olwaleero okunoonya akalulu Pulezidenti Museveni akutandikidde mu Disitulikiti ye Maracha mu lukungaana lwakubye ku ssomero lya Nyadre Urban secondary school e Maracha, ng’eno gyasinzidde okutegeeza nti abayizi bonna abayita mu nkola ya Gavumenti eya Skilling Hub baweebwa ssente okubaako ebyo byebetandikirawo.
Kyokka kino olugudde mu matu g’abantu be Maracha abadde nga akubye ejjinja mu njuki era bonna balekaanidde waggulu nga bategezaanga ssente zino bwebatazifuna wadde okuziwulirako.
Wano Museveni ayise abakulembeze ba Disitulikiti okuviira ddala ku Ssentebe wa district Gabrial Ofuke kyokka wano amyuka RDC Monica Koliba naasaba anyonyole ensonga zino, wabula byabanyonyodde byongedde kubatabula.
Ekiddiridde kubadde Pulezidenti Museveni kukwata kazindaalo okumutaasa.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe