Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 433 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Ab’emmundu bateeze Bbaasi ya Kalita nebanyagulula abasaabaze

December 6, 2017 · Mubiru Ali

Poliisi mu bitundu by'e Rwenzori ne Wamala eri ku muyiggo gwa basajja abatamanyangamba abaabadde babagalidde emigemera wala nebateega bbaasi ya Kalita ebadde eva e Bwera mu Kasese nga eyolekera Kampala mu kiro ekiyise nebanyagulula abasaabaze  

Nobert Ochom, ayogerera Poliisi mu bitundu by'e Wamala agamba nti abazigu bano bbaasi baagiteeze ku ssaawa ku ssaawa nga munaana era baabadde wakati wa 10 ne 15 nga kigambibwa nti baabadde mu byambalo bya magye nga balina n'emmundu kika kya SMG era baabuzeewo n'ebintu by'abasaabaze bingi omuli ssente enkalu n'amasimu .

Ochom agamba nti Poliisi weyatuukidde mu kifo nga abazigu tebakubikako kimunye era bali ku muyiggo naddala ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende, Busunju – Kiboga ne Kyankwanzi .