Abakulu b’essomero e Lwengo bakwatiddwa

Abasomesa b’essomero lya Coloh Children’s Foundation erisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo bakwatiddwa nebaggalirwa olw’ebigambibwa nti baalemera omuyizi Ojuma Joel ow’emyaka omwenda nebamukuumira ku ssomero olw’obutamalaayo bisale bya ssomero.
Ebyembi omuyizi ono yasangiddwa mu kisulo nga yetugidde mu kisulo ekiggya abazadde be mu mbeera nga bagamba nti omwana waabwe yandiba nga yattibwa buttibwa.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply