Abadde agambibwa okubba ebintu bya muganzi we azuuse – Poliisi

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti nga 3-Feb-2024 Poliisi y’e Kanyanya yafunye okwemulugunya okuva eri Namasera Winnie 25, omutuuze w’e Kyebando Central Zone nga agama nti muganzi we Lukyamuzi Timothy 26, yali atutte ebintu bye ebyo mu nnyumba nga tamuwadde lukusa.
Poliisi bweyakola okunoonyereza nekizuula nti mu Feb – 2024 Winnie yava mu nnyumba mwebaali babeera ne Timothy olwobutambanguko bwo mu maka naddukira ewa muganda we Nakasita Evelyn e Namavundu Gayaaza. Okusinziira ku Winnie agabmba nti 3-February ku ssaawa munsanvu ezomuttuntu yafuna essimu okuva ewa Timothy ngamutegeeza nti yali asenguse naye teyamubuulira gyeyadda nga agamba nti nannyini nnyumba yali abagobye mu nju ye. Yagezaako okumukubira naye nga tamufuna kwekusalawo addukire ku Poliisi. Timothy yereese ku Poliisi nakola sitaatimenti, era neyegaana ekyokubba nategeeza nti ebintu yabitwala wa mwannyini nabitereka nga bwanoonya ennyumba endala. Poliisi yagenze naye era ebintu nebisanga ku mulimu gwa mwannyina. Bombi bakiriziganyizza okwawula ebintu nga bwegezaako okumaliriza ensonga zaabwe nga abafumbo.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply