Aba NUP temulowooza ku kyokwekalakaasa – SCP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi eri bulindaala okwaŋŋanga abawagizi ba National Unity Platform begamba nti besomye okwekalakaasa okwetoloola Eggwanga lyonna nga bawakanya ekiragiro ky’okuyimiriza enkuŋŋaana zaabwe.
Enanga agamba nti amawulire g’okwekalakaasa bagafunye okuva mu bakessi baabwe abazze balondoola entambula z’omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ebyenjawulo.
Enanga abawadde gabuwa bayimirize enteekateeka zaabwe kuba zandi bazaalira ebizibu.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply