15 bafiiiridde mu muliro ogukutte akatale e Kenya akasingayo obunene

Abantu 15 kigambibwa bebafiiridde mu muliro ogukutte akatale akasingayo obunene mu Kenaya nga n’abalala nkaaga bafunye ebisago eby’amaanyi, Omuliro ogukutte ekitundu ku katale k’e Gikomba era nga waliwo n’emirambo gy’abantu nga mukaaga egisiridde ennyo.

Abafudde n’abalumiziddwa ennyo bonna kigambibwa babadde bagezaako okutaasa emmaali yaabwe. Kigambibwa nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro mu kitundu ekimanyiddwa nga Kwa Mbao. Omuliro gwasinze kusanyawo ekitundu mwebatundira embaawo n’engoye.

Akatale kano kasangibwa mu kitundu ky’e Majengo mu Kamukunji Constituency, Akatale kano aka Gikomba kasinga kutunda ngoye ez’emivumba era nga kazze kakwata omuliro okuva 2015.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

34 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

4 0 instagram icon