15 bafiiiridde mu muliro ogukutte akatale e Kenya akasingayo obunene

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu 15 kigambibwa bebafiiridde mu muliro ogukutte akatale akasingayo obunene mu Kenaya nga n’abalala nkaaga bafunye ebisago eby’amaanyi, Omuliro ogukutte ekitundu ku katale k’e Gikomba era nga waliwo n’emirambo gy’abantu nga mukaaga egisiridde ennyo.

Abafudde n’abalumiziddwa ennyo bonna kigambibwa babadde bagezaako okutaasa emmaali yaabwe. Kigambibwa nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro mu kitundu ekimanyiddwa nga Kwa Mbao. Omuliro gwasinze kusanyawo ekitundu mwebatundira embaawo n’engoye.

Akatale kano kasangibwa mu kitundu ky’e Majengo mu Kamukunji Constituency, Akatale kano aka Gikomba kasinga kutunda ngoye ez’emivumba era nga kazze kakwata omuliro okuva 2015.

Share.

Leave A Reply